Isaiah 13:3-5
3 aNze Mukama ndagidde abatukuvu bangempise abalwanyi bange ab’amaanyi,
babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.
4 bMuwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
eggye lye okulwana.
5 cBava wala mu nsi ezeewala ennya
okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
eby’okuzikiriza ensi yonna.
Copyright information for
LugEEEE